Luke 3:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaserikale nabo ne bamubuuza, ne bagamba nti: “Naffe tukole ki?” Ye n'abagamba nti: “Temulyazaamaanya muntu n'omu era temuwaayiriza; mubeere bamativu n'empeera yammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?” Yokaana n’abagamba nti, “Temuggyangako bantu nsimbi zaabwe. So temubawaayirizanga, n’empeera ebaweebwa ebamalenga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'abasserikale nabo ne bamubuuza, nga bagamba nti, “Naffe tukole ki?” N'abagamba nti, “Abantu temubanyagangako byabwe, era temubawayirizanga misango gye batazziza. Empeera yammwe ebamalenga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaserikale nabo ne bamubuuza nti: “Ate ffe tukole ki?” N'abagamba nti: “Abantu temubanyagangako byabwe, era temubawaayirizanga misango gye batazzizza. Mukomenga ku kufuna misaala gyammwe gyokka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era basserikale ne bamubuuza, nga bagamba nti Naffe tukole ki? n'abagamba nti Temujooganga muntu so temukakanga; era empeera yammwe ebamalenga.