Luke 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eggwanga lyali lirindirira na bonna nga beebuuza muli munda ku Yowanna nti: “Teyandiba Kristu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bwe baali nga basuubira, era bonna nga balowooza mu mitima gyabwe nti oba oli awo Yokaana ye Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu bonna ne batandika okulowooza mu mitima gyabwe nti Yowanne, oba oli awo ye Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bwe baali nga basuubira, era bonna nga balowooza ebigambo bya Yokaana mu mitima gyabwe oba nga mpozzi ye Kristo;