Luke 3:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowanna n'ayanukula bonna n'abagamba nti: “Weewaawo nze mbatiza na mazzi, naye wajja kujjayo ansinga amaanyi; gwe sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze; oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutuukirivu n'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yokaana n’addamu bonna ng’agamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, n’okusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza n’omuliro ne Mwoyo Mutukuvu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yokaana n'addamu n'agamba bonna nti, “ Mazima nze mbabatiza n'amazzi; naye ajja y'ansinga amaanyi, so nange sisaanira kusumulula buguwa bwa ngatto ze: ye alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowanne n'ategeeza bonna nti: “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ansinga obuyinza ajja okujja, gwe sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze. Ye, alibabatiza na Mwoyo Mutuukirivu era na muliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yokaana n'addamu n'agamba bonna nti Mazima nze mbabatiza n'amazzi; naye ajja y'ansinga amaanyi, so nange sisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ze: ye alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro: