Luke 3:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo abantu bonna bwe baamala okubatizibwa, Yezu naye ng'abatiziddwa, nga yeegayirira, eggulu ne libikkuka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu n’abatizibwa. Yesu n’asaba, eggulu ne libikkuka,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, abantu bonna bwe baali nga babatizibwa, ne Yesu bwe yamala okubatizibwa, bwe yasaba, eggulu ne libikkuka,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, abantu abalala bonna bwe baali nga bamaze okubatizibwa, Yesu naye ng'abatiziddwa, era bwe yali ng'asinza Katonda, eggulu ne libikkuka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, abantu bonna bwe baali nga babatizibwa, ne Yesu bwe yamala okubatizibwa, bwe yasaba, eggulu ne libikkuka.