Luke 3:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwoyo Mutuukirivu n'akka ku ye mu kifaananyi ekirabika, ng'ali ng'enjiibwa. Eddoboozi ne liva mu ggulu nti: “Ggwe mwana wange omwagalwa, nkwesiimiramu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwoyo Mutukuvu n’amukkako mu kifaananyi eky’ejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwoyo Omutukuvu n'akka ku ye mu kifaananyi eky'omubiri ng'ejjiba, n'eddoboozi ne lifuluma mu ggulu nga ligamba nti, “ Ggwe mwana wange omwagalwa; nkusanyukira nnyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era Mwoyo Mutuukirivu, ng'afaananira ddala ejjiba, n'akka ku ye. Era eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: “Ggwe Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala.” 9:35
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwoyo Omutukuvu n'akka ku ye mu kifaananyi eky'omubiri ng'ejjiba, n'eddoboozi ne lifuluma mu ggulu nti Ggwe mwana wange omwagalwa; nkusanyukira nnyo.