Luke 3:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yatandika okuyigiriza yali nga wa myaka asatu egy'obukulu, nga mutabani wa Yozefu (nga bwe baalowoozanga), mutabani wa Eli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu yali awezezza emyaka ng’amakumi asatu bwe yatandika omulimu gwe. Yesu nga bwe kyalowoozebwa, yali mwana wa Yusufu: ne Yusufu nga mwana wa Eri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Yesu yennyini, yatandika okuyigiriza, ng'aweza emyaka ng'asatu (30), era nga bwe yalowoozebwa nga ye mwana wa Yusufu, mwana wa Eri,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu yatandika omulimu gwe ogw'okuyigiriza, ng'aweza emyaka ng'amakumi asatu, abantu nga bamuyita mutabani wa Yosefu. Yosefu ono yali mutabani wa Eli,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Yesu yennyini, bwe yasooka okuyigiriza, yali yaakamala emyaka ng'amakumi asatu nga ye mwana (nga bwe yalowoozebwa) owa Yusufu, mwana wa Eri,