Luke 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'ebigambo bya Yisaaya omulanzi nti: “Eddoboozi ery'oyo aleekaana mu ddungu nti: ‘Mutegeke ekkubo ly'Omukama, muluŋŋamye obukubo bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti, “Eddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu nti, Mulongoose ekkubo lya Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'ebigambo bya nnabbi Isaaya nti, “Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino byabaawo nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'ebigambo bya Yisaaya omulanzi nti: “Waliwo eddoboozi ly'oyo ayogerera mu ddungu n'eddoboozi ery'omwanguka nti: ‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama, mutereeze amakubo ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'ebigambo bya nnabbi Isaaya nti Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge.