Luke 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba ebibiina by'abantu abajjanga gy'ali okubatizibwa nti: “Mmwe abaana b'amasalambwa, ani abalabudde okudduka obusungu obugenda okujja?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyeyava agamba abantu abajjanga gy’ali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yokaana n'agamba ebibiina ebyafulumanga okujja gyali okubatizibwa nti, “ Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bangi nnyo baagendanga eri Yowanne ababatize, ye n'abagamba nti: “Mmwe abaana b'emisota egy'obusagwa, ani abalabudde nti eno y'engeri ey'okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agamba ebibiina ebyafulumanga okubatizibwa ye nti Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?