Luke 3:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno mulage ebibala ebiva mu kubonerera kwammwe; temutandika kwegamba nti: ‘Tulina kitaffe Yiburayimu,’ kubanga, ka mbabuulire, mu mayinja gano gennyini Katonda ayinza okuggyiramu Yiburayimu abaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kwogera munda zammwe nti Tulina jjajjaffe ye Ibulayimu: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza amayinja gano okugafuuliramu Ibulayimu abaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukole nno ebikolwa ebiraga nti mwenenyezza ebibi byammwe. Mulekere awo okweyinula nti tulina kitaffe Aburahamu, kubanga mbagamba nti Katonda asobola okufunira Aburahamu abazzukulu, ng'abaggya mu mayinja gano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kwogera munda zammwe nti Tulina jjajjaffe ye Ibulayimu: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza amayinja gano okugafuuliranga Ibulayimu abaana.