Luke 3:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na kati embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti. Buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa gusuulibwe mu muliro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti; kale buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, gusuulibwa mu muliro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mufaanaanyirizibwa n'emiti. Kati embazzi eteekeddwa ku kikolo kya buli muti. Ogwo ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa, era gusuulibwe mu muliro.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti; kale buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, gusuulibwa mu muliro.