Luke 4:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'addayo mu Galilaaya ng'ajjudde amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu. Amawulire ku ye ne gabuna wonna mu nsi eyeetoolodde awo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’akomawo mu Ggaliraaya ng’ajjudde amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu, n’ayogerwako mu bitundu byonna ebyetoolodde mu byalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'akomawo e Ggaliraaya mu maanyi ag'Omwoyo: ettutumu lye ne ligenda nga libuna mu nsi zonna eziriraanyeewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'addayo mu Galilaaya ng'amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu gali naye. Ettutumu lye ne libuna mu kitundu ekyo kyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'akomawo e Ggaliraaya mu maanyi ag'Omwoyo: ettutumu lye ne ligenda nga libuna mu nsi zonna eziriraanyeewo.