Luke 4:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'ajja e Nazareti, gye yakulira; ku lunaku lwa Sabbaato n'ayingira mu sinaagooga nga bwe yali amanyidde, n'asituka okusoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yatuuka e Nazaaleesi, ekibuga mwe yakulira, n’agenda mu kkuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nga bwe yali empisa ye. N’ayimuka okusoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'ajja e Nazaaleesi gye yakulira; ku lunaku olwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro nga bwe yali empisa ye, n'ayimirira okusoma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'ajja e Nazaareeti gye yakulira. Ku lunaku lwa Sabbaato, n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, nga bwe yali amanyidde okukola. N'asituka okusoma ebyawandiikibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ajja e Nazaaleesi gye yakulira; ku lunaku olwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro nga bwe yali empisa ye, n'ayimirira okusoma.