Luke 4:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omwoyo gw'Omukama gundiko, kubanga yansiiga omuzigo, yantuma okubuulira abaavu amawulire amalungi, okulangirira okuteebwa eri abasibe, n'eri bamuzibe nti ba kulaba; n'okuleka abatulugunyizibwa bagende mu ddembe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwoyo wa Mukama ali ku nze. Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri. Antumye okubuulira abasibe okuteebwa, n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe, n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwoyo gwa Mukama guli ku nze, Kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu ebigambo ebirungi: Antumye okutegeeza abanyage okuteebwa, N'okuzibula abazibe b'amaaso, Okuta abanyigirizibwa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omwoyo gwa Mukama guli ku nze, kubanga yanjawula okutegeeza abaavu Amawulire Amalungi. Yantuma okutegeeza abasibe nti bajja kuteebwa, ne bamuzibe nti bajja kulaba. Era yantuma okuwonya abanyigirizibwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwoyo gwa Mukama guli ku nze, Kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu ebigambo ebirungi: Antumye okutendera abanyage okuteebwa, N'okuzibula abazibe b'amaaso, Okubata ababetentebwa,