Luke 4:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna ne bamwogerako bulungi, ne beewuunya ebigambo ebiwoomerevu ebyali biva mu kamwa ke; ne bagamba nti: “Ono si ye mutabani wa Yozefu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna abaaliwo ne bamutenda nga beewuunya ebigambo bye ebyekisa ebyava mu kamwa ke, nga bwe beebuuza nti, “Ono si ye mutabani wa Yusufu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna ne bamwogerako bulungi, era ne beewuunya olw'ebigambo eby'ekisa ebivudde mu kamwa ke: ne bagamba nti, “ Ono si ye Mwana wa Yusufu?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna ne bamusemba, era ne beewuunya olw'ebigambo ebirungi bye yayogera, ne bagamba nti: “Ono si ye mutabani wa Yosefu?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna ne bamutegereza, ne beewuunya olw'ebigambo eby'ekisa ebivudde mu kamwa ke: ne bagamba nti Ono si ye Mwana wa Yusufu?