Luke 4:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abagamba nti: “Mazima mujja kungerera olugero luno nti: ‘Musawo weewonye! Bye twawulira bye wakola e Kafarunawumu, bikole na wano ewaabommwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala muliyinza n’okuŋŋamba mu lugero luno nti, ‘Omusawo, weewonye,’ nga mugamba nti, ‘Buli kye twawulira mu Kaperunawumu, kikolere na wano mu kyalo kyo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Ddala temulirema kuŋŋamba lugero luno nti Omusawo, weewonye wekka: byonna bye twawulira nga bikolerwa e Kaperunawumu, bikolere na wano mu kyalo ky'ewammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Ddala mujja kundeetera olugero olugamba nti: ‘Omusawo, weewonye.’ Era mujja kuŋŋamba nti: ‘Bye wakolera e Kafarunawumu, bye twawulira, bikolere na wano mu kibuga ky'ewammwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Temulirema kuŋŋamba lugero luno nti Omusawo, weewonye wekka: byonna bye twawulira nga bikolerwa e Kaperunawumu, bikolere na wano mu kyalo kyannyo.