Luke 4:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti tewali mulanzi n'omu akkirizibwa kwa boobwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Tewali nnabbi ayanirizibwa mu kyalo ky’ewaabwe!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'abagamba nti, “ Mazima mbagamba nti Tewali nnabbi akkirizibwa mu kyalo ky'ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti tewali mulanzi ayanirizibwa mu kitundu ky'ewaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Mazima mbagamba nti Tewali nnabbi akkirizibwa mu kyalo kyabo.