Luke 4:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima mbagamba nti mu mirembe gya Eliya, bannamwandu baali bangi mu nsi ya Yisirayeli, eggulu lwe lyesibira emyaka esatu n'emyezi omukaaga, enjala n'egwa nnyingi mu nsi eyo yonna;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mazima mbagamba nti, waaliwo bannamwandu bangi mu biseera bya nnabbi Eriya, mu Isirayiri enkuba bwe yamala emyaka esatu n’ekitundu nga tetonnya, n’enjala n’egwa mu nsi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mazima mbagamba nti Waaliwo bannamwandu bangi mu Isiraeri mu biro bya Eriya, eggulu lwe lyaggalirwa emyaka esatu n'emyezi mukaaga, enkuba nga tetonya enjala nnyingi bwe yagwa ku nsi yonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ge mbagamba ge mazima nti mu mirembe gya Eliya waaliwo bannamwandu bangi mu Yisirayeli. Mu biseera ebyo, eggulu lyesiba, enkuba n'etetonnya okumala emyaka esatu n'emyezi mukaaga, enjala n'egwa nnyingi mu nsi yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mazima mbagamba nti Waaliwo bannamwandu bangi mu Isiraeri mu biro bya Eriya, eggulu lwe lyaggalirwa emyaka esatu mu emyezi mukaaga, enjala nnyingi bwe yagwa ku nsi yonna;