Luke 4:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'aserengeta e Kafarunawumu, ekibuga ky'omu Galilaaya, n'abayigiriza ku Sabbaato.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’alaga e Kaperunawumu, ekibuga eky’e Ggaliraaya n’abayigirizanga ku nnaku eza Ssabbiiti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'aserengeta e Kaperunawumu, ekibuga eky'e Ggaliraaya: n'abayigirizanga ku lunaku olwa ssabbiiti:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'agenda e Kafarunawumu, ekibuga eky'omu Galilaaya. Ku lunaku lwa Sabbaato n'abayigiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aserengeta e Kaperunawumu, ekibuga eky'e Ggaliraaya: n'abayigirizanga ku lunaku olwa ssabbiiti: