Luke 4:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yezu n'amukomako, n'agamba nti: “Sirika, ate muveemu.” Awo omwoyo omubi ne gumulindiggula wakati, ne gumuvaamu nga tegumukoze kabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amuboggolera ng’agamba nti, “Sirika! Muveeko!” Awo dayimooni n’asuula eri omusajja wansi wakati mu bantu, n’amuvaako nga tamulumizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti, “ Sirika, muveeko.” Dayimooni bwe yamusuula wakati waabwe n'amuvaako nga tamukoze kabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'aboggolera omwoyo omubi nti: “Sirika mangu, n'omuntu ono muveeko.” Omwoyo omubi bwe gwamala okusuula omuntu oyo wakati waabwe, ne gumuvaako nga tegulina kabi konna ke gumukoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti Sirika, muveeko. Dayimooni bwe yamusuula wakati n'amuvaako nga tamukoze kabi.