Luke 4:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna ne batya, ne beebuuzaganya nga bagamba nti: “Kigambo ki kino! Kubanga alagira n'obuyinza n'amaanyi emyoyo emigwagwa ne givaamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli muntu n’atya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Kigambo ki kino? Kubanga alagira n’obuyinza n’amaanyi emyoyo emibi ne giva mu muntu, ekireetera ne dayimooni okumugondera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuwuniikirira ne kubakwata bonna ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti, “ Kigambo ki kino? Kubanga alagira n'obuyinza n'amaanyi badayimooni ne bava ku bantu!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna ne batya, ne beebuuzaganya nti: “Ekigambo kye kya ngeri ki? Olaba emyoyo emibi agiragiza maanyi na buyinza ne giva ku bantu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuwuniikirira ne kubakwata bonna ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti Kigambo ki kino? kubanga alagira n'obuyinza n'amaanyi badayimooni ne bavaako.