Luke 4:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu naasituka, n'ava mu sinaagooga, n'ayingira mu nnyumba ya Simoni. Nnyina muka Simoni Petero yali alwadde omusujja mungi; ne bamwegayirira ku lulwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yava mu kkuŋŋaaniro, n’alaga mu maka ga Simooni. Yasanga nnyina mukazi wa Simooni omusujja gumuluma nnyo, abantu ne bamwegayiririra ku lulwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'asituka n'ava mu kkuŋŋaaniro n'ayingira mu nnyumba ya Simooni. Awo nnyazaala wa Simooni yali ng'akwatiddwa omusujja mungi, ne bamwegayirira ku lulwe amuwonye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'ava mu kkuŋŋaaniro, n'ayingira mu nnyumba ya Simooni. Nnyina muka Simooni yali alwadde omusujja mungi. Ne beegayirira Yesu amuwonye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayimuka n'ava mu kkuŋŋaaniro n'ayingira mu nnyumba ya Simooni. Awo nnyina mukazi wa Simooni yali ng'akwatiddwa omusujja mungi, ne bamwegayirira ku lulwe.