Luke 4:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayimirira w'ali, n'akoma ku musujja, ne gumuta; amangu ago n'agolokoka n'abaweereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’ayimirira okumpi n’omulwadde we yali, n’alagira omusujja gumuwoneko, amangwago omulwadde n’awona, n’asituka n’abaweereza!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'agenda n'ayimirira awali omulwadde, n'aboggolera omusujja; ne gumuwonako: amangwago n'agolokoka n'abaweereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'agenda n'ayimirira awali omulwadde, n'alagira omusujja ne guwona. Amangwago abadde omulwadde n'ayimuka, n'atandika okubaweereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayimirira w'ali, n'aboggolera omusujja; ne gumuwonako amangu ago n'agolokoka n'abaweereza.