Luke 4:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enjuba bwe yali egwa, bonna abaali balina abalwadde aba buli nkenyera, ne babaleeta w'ali. N'abassaako emikono kinnoomu, n'abawonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obudde bwe bwali buwungeera, abantu bonna abaalina abalwadde ab’endwadde eza buli ngeri, ne babaleeta eri Yesu, n’abassaako emikono buli omu n’amuwonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo enjuba bwe yali ng'egwa, bonna abaalina abalwadde ab'endwadde ezitali zimu ne babamuleetera, Yesu n'akwata ku buli mulwadde, n'abawonya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enjuba ng'egudde, bonna abaalina abalwadde ab'endwadde eza buli ngeri, ne babaleeta awali Yesu, n'akwata ku buli mulwadde n'amuwonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo enjuba bwe yali ng'egwa, bonna abaalina abalwadde ab'endwadde ezitali zimu ne babamuleetera, buli omu ku abo n'amussaako emikono gye, n'abawonya.