Luke 4:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emyoyo emibi ne giva mu bangi nga gireekaana nti: “Oli Mwana wa Katonda!” Ye n'agikomako, n'atagiganya kwogera; kubanga gyali gimanyi nga ye Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu baaliko baddayimooni, Yesu n’abalagira ne bava ku balwadde nga bwe baleekaana nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” Naye kubanga baamumanya nga ye Kristo, n’atabaganya kukyogerako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne badayimooni ne bava ku bantu bangi, ne bakaaba nga bagamba nti, “ Ggwe oli Mwana wa Katonda.” N'ababoggolera, n'atabaganya kwogera, kubanga baamanya nga ye Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emyoyo emibi nagyo ne giva ku bantu bangi, nga gireekaana nti: “Ggwe Mwana wa Katonda!” Yesu n'agiboggolera, n'atagikkiriza kwogera, kubanga gyali gimumanyi nti ye Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne badayimooni ne babavaako bangi, ne bakaaba nga bagamba nti Ggwe oli Mwana wa Katonda: N'ababoggolera, n'atabaganya kwogera, kubanga baamanya nga Ye Kristo: