Luke 4:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bwakya enkya, n'afuluma, n'agenda mu kifo ekyesudde; abantu ne bamunoonya ne bamuggukako; ne bamusibaasiba aleme kubavaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe bwakya Yesu n’alaga mu kifo etali bantu. Ekibiina ky’abantu ne bamunoonya, okutuusa lwe baamulaba ne balaga gy’ali ne bamwegayirira aleme kubavaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo obudde bwe bwakya, n'avaayo n'agenda mu kifo eteri bantu: ebibiina ne bimunoonya ne bajja w'ali, era ne baagala okumuziyiza aleme okubavaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obudde bwe bwakya, Yesu n'alaga mu kifo ekitaalimu bantu. Abantu bangi ne bamunoonya okutuusa lwe baamulaba, era ne bagezaako okumuziyiza aleme okubavaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo obudde bwe bwakya, n'avaayo n'agenda mu kifo etali bantu: ebibiina ne bimunoonya ne bajja w'ali, ne baagala okumugaana aleme okubavaako.