Luke 4:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abagamba nti: “Ne mu bibuga ebirala nteekwa okuyigirizaayo amawulire amalungi ag'obwakabaka bwa Katonda, anti ekyo kye natumirwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye n’abaddamu nti, “Kinsaanira okubuulira Enjiri y’obwakabaka bwa Katonda ne mu bifo ebirala kubanga eyo y’ensonga kyenava ntumibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'abagamba nti, “ Kiŋŋwanidde okubuulira Enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala; kubanga ekyo kye kyantumya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ye n'abagamba nti: “Ebibuga ebirala nabyo nteekwa okubitegeeza Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka bwa Katonda, kubanga natumibwa lwa nsonga eyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'abagamba nti Kiŋŋwanidde okubuulira enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala; kubanga kye kyantumya.