Luke 4:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sitaani n'amugamba nti: “Obuyinza bwonna n'ekitiibwa kyago nnaabikuwa, kubanga byampeebwa, gwe njagala gwe mbiwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Setaani n’amugamba nti, “Nzija kukuwa obuyinza ku obwo bwonna n’ekitiibwa kyabwo, kubanga bwonna bwa mpeebwa era nnyinza okubuwa omuntu yenna gwe njagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Setaani n'amugamba nti, “ Nnaakuwa ggwe obuyinza buno bwonna, n'ekitiibwa kyamu; kubanga nnaweebwa nze: era ngabira buli gwe njagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amugamba nti: “Nja kukuwa obuyinza okufuga amawanga gano gonna era nkuwe n'ebirungi byonna ebigalimu. Byonna byampeebwa, era gwe njagala gwe mbigabira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Setaani n'amugamba nti Nnaakuwa ggwe obuyinza buno bwonna, n'ekitiibwa kyamu; kubanga nnaweebwa nze: era ngabira buli gwe njagala.