Luke 4:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'amutwala e Yeruzaalemu, n'amussa ku kitikkiro ky'Ekiggwa, n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, weesuule wansi okuva wano; kubanga kyawandiikibwa nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate Setaani n’amutwala mu Yerusaalemi, n’amulinnyisa waggulu ku kasolya ka Yeekaalu awasingira ddala obutumbiivu, n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, buuka weesuule wansi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amutwala e Yerusaalemi, n'amuteeka ku kitikkiro kya Yeekaalu, n'amugamba nti, “ Oba oli Mwana wa Katonda, sinziira wano, weesuule wansi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sitaani n'atwala Yesu e Yerusaalemu, n'amuteeka ku kitikkiro ky'Essinzizo, n'amugamba nti: “Oba nga ddala oli Mwana wa Katonda, sinziira wano, weesuule wansi eri,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amutwala e Yerusaalemi, n'amuteeka ku kitikkiro kya yeekaalu, n'amugamba nti Oba oli Mwana wa Katonda, yima wano, weesuule wansi;