Luke 5:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina bwe kyali kirinnimukira gy'ali nga kyagala okuwulira ekigambo kya Katonda, ye yali ayimiridde ku nnyanja y'e Gennesareti,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu yali ayimiridde ku lubalama lw’ennyanja y’e Genesaleeti ng’ayigiriza, ebibiina nga bamunyigiriza nga bawuliriza ekigambo kya Katonda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Yesu bwe yali ng'ayimiridde ku lubalama lw'ennyanja y'e Genesaleeti, ebibiina ne bimunyigiriza bawulire ekigambo kya Katonda;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali lumu, Yesu bwe yali ayimiridde ku lubalama lw'ennyanja Gennesareeti, abantu bangi ne bajja nga basindikagana, batuuke w'ali okuwulira ekigambo kya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ebibiina bwe byamunyigiriza ne bawulira ekigambo kya Katonda, ye yali ng'ayimiridde ku nnyanja y'e Genesaleeti;