Luke 5:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kye kimu ne Yakobo ne Yowanna batabani ba Zebedaayo abaali banne ba Simoni. Yezu n'agamba Simoni nti: “Leka kutya, n'okuva kati ojjanga kukwasanga bantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo ne Yokaana abaana ba Zebbedaayo. Yesu n’amuddamu nti, “Totya! Okuva kaakano ojjanga kuvuba myoyo gya bantu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne Yakobo ne Yokaana abaana ba Zebbedaayo, abaali bakolera awamu ne Simooni nabo ne bawuniikirira bwe batyo. Yesu n'agamba Simooni nti, “ Totya: okuva kaakano onoovubanga abantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu ngeri ye emu Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo, era banne ba Simooni, ne bakwatibwa entiisa. Awo Yesu n'agamba Simooni nti: “Totya, okuva kati, ojja kuba muvubi wa bantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Yakobo ne Yokaana nabo bwe batyo, abaana ba Zebbedaayo, abaali bassizza ekimu ne Simooni. Yesu n'agamba Simooni nti Totya: okusooka kaakano onoovubanga abantu.