Luke 5:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali mu kimu ku bibuga, ne wajjayo omusajja abunye ebigenge; bwe yalaba Yezu, ne yeeyala wansi ku maaso ge, n'amwegayirira nti: “Mukama, bw'oyagala osobola okunnongoosa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kibuga Yesu mwe yali akyadde mwalimu omusajja eyali alwadde ebigenge. Bwe yalaba Yesu n’avuunama mu maaso ge, n’amwegayirira nti, “Mukama wange, bw’oba ng’oyagala, oyinza okunnongoosa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe yali mu kibuga ekimu ku ebyo, laba, waaliwo omuntu eyali ajjudde ebigenge; oyo bwe yalaba Yesu, n'avuunama amaaso ge n'amwegayirira, ng'agamba nti, “Mukama wange, bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali lumu, Yesu bwe yali mu kibuga ekimu, ne wajjawo omusajja ajjudde ebigenge. Bwe yalaba Yesu, n'afukamira, n'amwegayirira nti: “Ssebo, singa oyagala, oyinza okumponya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yali mu kibuga kimu mu ebyo, laba, waaliwo omuntu eyali ajjudde ebigenge; oyo bwe yalaba Yesu, n'avuunama amaaso ge n'amwegayirira, ng'agamba nti Mukama wange, bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.