Luke 5:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amukomereza obutabuulira muntu; n'amugamba nti: “Genda weeyoleke ewa kabona, oweeyo ekitone olw'okulongoosebwa kwo, nga Musa bwe yalagira, ng'obukakafu gye bali.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’alagira omusajja nti, “Tobaako muntu n’omu gw’ogamba, naye genda weeyanjule eri kabona oweeyo ekiweebwayo olw’okulongosebwa nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amukuutira obutabuulirako muntu n'omu; naye n'amulagira nti, “Genda, weerage eri kabona, oweeyo eby'okulongooka kwo, nga Musa bwe yalagira, okuba omujulirwa gyebali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amugaana okubuulirako omuntu n'omu, wabula n'amulagira nti: “Genda weeyanjule ewa kabona, oweeyo ekirabo nga Musa bwe yalagira, balyoke bakakase nti owonye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ye n'amukuutira obutabuulirako muntu; naye genda, weerage eri kabona, oweeyo eby'okulongooka kwo, nga Musa bwe yalagira, okuba omujulirwa gye bali.