Luke 5:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye amawulire ku ye ne geeyongera okubuna, n'ebibiina bingi ne byesombera w'ali bawulirize era bawonyezebwe n'endwadde zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne yeeyongera bweyongezi okubunya ettutumu ly’obuyinza bwa Yesu era ebibiina binene ne bikuŋŋaana okumuwulira n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebigambo bye ne byeyongera bweyongezi okubuna, ebibiina bingi ne bikuŋŋaana okuwulira n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ettutumu lya Yesu ne lyeyongera bweyongezi okubuna, era abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaananga okumuwuliriza, era n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebigambo bye ne byeyongera bweyongezi okubuna, ebibiina bingi ne bikuŋŋaana okuwulira n'okuwonyezebwa endwadde zaabwe.