Luke 5:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo olumu mu nnaku ezo, yali ayigiriza, Abafarisaayo n'abayigiriza b'amateeka nabo nga batudde awo; baali bavudde mu buli kyalo kyonna eky'e Galilaaya, Buyudaaya, ne mu Yeruzaalemu. Amaanyi g'Omukama gaamuliko okuwonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwali lumu Yesu yali ayigiriza abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka nabo nga batudde awo, abaali bavudde mu buli kyalo eky’e Ggaliraaya ne Buyudaaya era n’e Yerusaalemi. Amaanyi ga Mukama gaali ku ye okuwonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ku lunaku olumu ku ezo, Yesu yali ng'ayigiriza; Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka baali batudde awo, abaali bavudde mu buli kibuga eky'e Ggaliraaya, n'e Buyudaaya n'e Yerusaalemi: n'amaanyi ga Mukama gaali naye okuwonya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo, ku lunaku olumu, Yesu bwe yali ng'ayigiriza, waaliwo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka nga batudde awo. Baali bavudde mu byalo byonna eby'e Galilaaya n'eby'e Buyudaaya era ne mu kibuga Yerusaalemu. Amaanyi ga Katonda gaali ne Yesu, ne gamusobozesa okuwonya abalwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ku lunaku lumu mu ezo, yali ng'ayigiriza; n'Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka baali batudde awo, abaali bavudde mu buli kibuga eky'e Ggaliraaya, n'e Buyudaaya n'e Yerusaalemi: n'amaanyi ga Mukama gaali naye okuwonya.