Luke 5:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne wajja abasajja nga beetisse ku lunnyo omulwadde akonzibye; ne banoonyereza aw'okumuyingiriza bamuteeke mu maaso ga Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja ne bajja nga basitudde omusajja ku katanda eyali akoozimbye. Ne bagezaako okumuyingiza okumuleeta Yesu we yali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, abantu ne baleetera omuntu ku kitanda eyali akoozimbye: ne basala amagezi okumuyingiza, n'okumuteeka mu maaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne wajjawo abasajja abaaleeta omuntu akonvubye. Baamuleetera ku katanda, ne bagezaako okumuyingiza n'okumuteeka awali Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, abantu ne baleetera omuntu ku kitanda eyali akoozimbye: ne basala amagezi okumuyingiza, n'okumuteeka mu maaso ge.