Luke 5:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekibiina, Ne babulwa we bayita okumuyingiza olw'ekibiina. Awo ne balinnya ku kasolya waggulu, ne bamuyisa mu mategula wamu n'olunnyo ne bamukkiriza mu makkati mu maaso ga Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe bataasobola kumuyingiza olw’ekibiina ekinene ne balinnya waggulu ku kasolya, ne baggyawo ku mategula ne bayisaamu omulwadde ne bamussa ng’agalamidde ku katanda ke ne baamutereereza ddala mu maaso ga Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe bataalaba wa kumuyingiriza olw'ekibiina, ne balinnya waggulu ku nju, ne bamuyisa mu matoffaali ne bamussiza ku kitanda kye wakati mu maaso ga Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'obungi bw'abantu, ne balemwa okuzuula we bamuyisa okumuyingiza. Ne balinnya waggulu ku kasolya k'ennyumba, ne bakasereekululako ekitundu, ne bamuyisa mu mwagaanya ogwo ng'ali ku katanda, ne bamussa mu bantu wakati awali Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe bataalaba wa kumuyingiriza olw'ekibiina, ne balinnya waggulu ku nju, ne bamuyisa mu matoffaali ne bamussiza ku kitanda kye wakati mu maaso ga Yesu.