Luke 5:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abawandiisi n'Abafarisaayo ne batandika okwebuuza nga bagamba nti: “Ani ono ayogera ebivuma Katonda? Ani ayinza okusonyiwa ebibi wabula Katonda yekka?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani avvoola! Ani ayinza okusonyiwa ebibi wabula Katonda yekka?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abawandiisi n'Abafalisaayo ne batandika okuwakana bokka n'abokka, nga bagamba nti, “ Ani ono ayogera eby'okuvvoola? Ani ayinza okuggyako ebibi, wabula Katonda yekka?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo ne batandika okwebuuzaganya nti: “Ono ye ani? Yeeyita Katonda? Ggwe kale ani alina obuyinza okusonyiwa ebibi, okuggyako Katonda yekka?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abawandiisi n'Abafalisaayo ne batanula okuwakana, nga bagamba nti Ani ono ayogera eby'okuvvoola? Ani ayinza okuggyako ebibi, wabula Katonda yekka?