Luke 5:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yategeera bye beebuuza, n'abagamba nti: “Mwebuuza ki mu mitima gyammwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nate Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’ababuuza nti, “Lwaki mulowooza bwe mutyo mu mutima gwammwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu bwe yategeera okuwakana kwabwe n'addamu n'abagamba nti, “ Muwakana ki mu mitima gyammwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'abagamba nti: “Mwebuuza ki mu mitima gyammwe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesu bwe yategeera okuwakana kwabwe n'addamu n'abagamba nti Muwakana ki mu mitima gyammwe?