Luke 5:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale mmwe okumanya ng'Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi obw'okusonyiwa ebibi,” - awo n'agamba eyali akonzibye nti: “Nkugamba: situka, kwata olunnyo lwo ogende ewammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mulyoke mutegeere nti, Omwana w’Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” N’agamba eyali akozimbye nti, “Situka, ositule akatanda ko, weddireyo ewuwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mutegeere nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi.” N'agamba oyo eyali akoozimbye nti, “ Nkugamba yimuka, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano ka mbalage nti Omwana w'Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Awo n'agamba akonvubye nti: “Yimirira, weetikke akatanda ko, oddeyo ewammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mutegeere nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi (n'agamba oyo eyali akoozimbye), Nkugamba nti Yimuka, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.