Luke 5:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago n'asituka mu maaso gaabwe, n'akwata kye yali agalamiddeko, n'agenda ewaabwe ng'agulumiza Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago omusajja n’asituka n’asitula akatanda kwe yali agalamidde, n’addayo ewuwe ng’agulumiza Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago n'ayimuka, bonna nga balaba, n'asitula ekitanda kye yali agalamiddeko, n'agenda ewuwe, ng'agulumiza Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago omusajja n'ayimirira, bonna nga balaba, n'asitula akatanda kw'abadde agalamidde, n'addayo ewuwe ng'agulumiza Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago n'ayimuka mu maaso gaabwe, n'asitula ekyo kye yali agalamiddeko, n'agenda ewuwe, ng'agulumiza Katonda.