Luke 5:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna ne bawuniikirira, ne batendereza Katonda; ne bajjula okutya, ne bagamba nti: “Olwa leero tulabye ebikuuno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna ne bajjula encukwe. Ne bagulumiza Katonda nga bajjudde entiisa nga boogera nti, “Tulabye ebyewuunyisa leero.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuwuniikirira ne kubakwata bonna, ne bagulumiza Katonda; ne batya nnyo, ne bagamba nti, “ Tulabye eby'ekitalo leero.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna ne beewuunya, ne bagulumiza Katonda, era entiisa n'ebakwata, ne bagamba nti: “Olwaleero tulabye ebyewuunyisa!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuwuniikirira ne kubakwata bonna, ne bagulumiza Katonda; ne batya nnyo, nga bagamba nti Tulabye eby'ekitalo leero.