Luke 5:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, n'afuluma; n'alaba omusolooza w'omusolo erinnya lye Leevi ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti: “Ngoberera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’avaayo n’alaba omusolooza w’omusolo, erinnya lye Leevi ng’atudde omusolo we gukuŋŋaanyizibwa, n’amugamba nti, “Ngoberera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma lw'ebyo n'avaayo n'alaba omuwooza erinnya lye Leevi, ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti, “Yita nange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'ava mu kifo ekyo, n'alaba omusolooza w'omusolo ayitibwa Leevi, ng'atudde we basolooleza omusolo. Yesu n'amugamba nti: “Jjangu, oyitenga nange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma lw'ebyo n'avaayo n'alaba omuwooza erinnya lye Leevi, ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti Yita nange.