Luke 5:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Leevi n'amufumbira embaga nnene mu nnyumba ye; waaliwo ekibinja kinene eky'abasolooza b'omusolo n'abalala bwe baali naye ku mbaga nga balya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Leevi n’afumbira Yesu ekijjulo eky’amaanyi mu maka ge. Waaliwo abasolooza banne ab’omusolo bangi, n’abantu abalala bangi, abaali ku kijjulo ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Leevi n'afumbira Yesu embaga nnene mu nnyumba ye: era waaliwo ekibiina kinene eky'abawooza n'eky'abalala abaali batudde nabo ku mmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu maka ge, n'afumbira Yesu embaga nnene. Abasolooza b'omusolo bangi nnyo era n'abantu abalala ne batuula ne balya wamu nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Leevi n'amufumbira embaga nnene mu nnyumba ye: era waaliwo ekibiina kinene eky'abawooza n'eky'abalala abaali batudde nabo ku mmere.