Luke 5:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'asaabala mu lyato erimu, erya Simoni, n'amusaba asembezeeyo katono eryato okuva ku ttale. N'atuula n'ayigiriza ng'ayima mu lyato.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’alinnya mu lyato erimu eryali erya Simooni, n’amusaba alisembezeeko katono mu nnyanja, n’alituulamu, asinziire omwo okuyigiriza ebibiina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'asaabala mu limu ku maato ago, eryali erya Simooni; n'amugamba okulisembezaayo katono okuva ku ttale. N'atuula n'ayigiririza ebibiina ng'ali mu lyato.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'asaabala mu limu ku maato ago, eryali erya Simooni, n'asaba Simooni alisembezeeyo katono okuva ku lukalu, n'ayigiriza abantu ng'atudde mu lyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asaabalako eryato erimu, eryali erya Simooni; n'amugamba okulisembezaayo katono okuva ku ttale. N'atuula n'ayigiririza ebibiina mu lyato.