Luke 5:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafarisaayo n'abawandiisi baabwe ne beemulugunyiza abayigirizwa be nti: “Lwaki mmwe mulya ne munywa n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beemulugunya, olw’abayigirizwa be nga bagamba nti, “Lwaki mulya era ne munywa n’abasolooza b’omusolo n’abalina ebibi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abafalisaayo n'abawandiisi baabwe ne beemulugunyiza abayigirizwa be, nga bagamba nti, “ Kiki ekibaliisa n'okunywera awamu n'abawooza n'abantu abalina ebibi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne beemulugunya nga bagamba abayigirizwa ba Yesu nti: “Lwaki muliira era ne munywera wamu n'abasolooza b'omusolo n'aboonoonyi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abafalisaayo n'abawandiisi baabwe ne beemulugunyiza abayigirizwa be, nga bagamba nti Kiki ekibaliisa n'okunywera awamu n'abawooza n'abantu abalina ebibi?