Luke 5:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bamugamba nti: “Abayigirizwa ba Yowanna basiiba emirundi mingi era beegayirira, era n'abayigirizwa b'Abafarisaayo bakola kye kimu, sso ng'ababo balya ne banywa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ne bamugamba nti, “Abayigirizwa ba Yokaana batera okusiiba n’okusaba. N’abayigirizwa b’Abafalisaayo nabo bwe batyo. Naye ababo balya ne banywa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabo ne bamugamba nti, “ Abayigirizwa ba Yokaana basiiba emirundi mingi, era basaba; era n'ab'Abafalisaayo bwe batyo bwe bakola; naye ababo balya, era banywa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu abamu ne bagamba Yesu nti: “Abayigirizwa ba Yowanne basiiba emirundi mingi era ne beegayirira Katonda, n'abayigirizwa b'Abafarisaayo nabo bwe bakola, naye ababo balya era banywa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo ne bamugamba nti Abayigirizwa ba Yokaana basiiba emirundi mingi, era basaba; era n'ab'Abafalisaayo bwe batyo; naye ababo balya, banywa.