Luke 5:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abagamba nti: “Ddala abagenyi ku mbaga y'obugole muyinza okubasiibya ng'awasizza akyali nabo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’abagamba nti, “Abagenyi bayinza okusiiba ng’awasizza omugole akyali nabo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abagamba nti, “ Kale muyinza okusiibya abaana b'obugole, awasizza omugole bw'aba ng'ali nabo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Abayite ku mbaga y'obugole temuyinza kubagaana kulya, ng'awasizza omugole akyali nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abagamba nti Kale muyinza okusiibya abaana b'obugole, awasizza omugole bw'aba ng'ali nabo?