Luke 5:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'abaleetera olugero nti: “Tewali muntu ayuza kiwero ku kyambalo kiggya n'akissa ku kyambalo kikadde; bw'akola atyo, ekiggya akiyuza, n'ekiwero ekiggyiddwa ku kiggya tekigendana na kikadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’abagerera olugero nti, “Tewali ayuza kiwero mu lugoye oluggya alyoke azibise ekituli mu lugoye olukadde. Bw’akikola, ekiwero ekiggya kiyuza olukadde, n’ekiwero ekiggya tekijja kugendera wamu na lugoye olukadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'abagerera olugero nti, “ Tewali muntu ayuza ku lugoye oluggya ekiwero n'akitunga mu lugoye olukadde; kuba bw'akola bwatyo, ekiwero ekiggya kiyuza olugoye olukadde era n'ekiwero ky'ayuza ku lugoye oluggya tekifaanana na lugoye lukadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'abagerera olugero nti: “Omuntu tayuza kiwero mu lugoye luggya n'akitunga mu lugoye lukadde. Singa akola kino, olugoye oluggya alussaamu ekituli, ate olugoye olukadde ne lutasaaniramu kiwero kiggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abagerera olugero nti Tewali muntu ayuza ku lugoye oluggya ekiwero n'akitunga mu lugoye olukadde; kuba bw'akola atyo, ekiggya kiyuza olukadde era n'ekiwero ky'ayuza ku luggya tekifaanana na lukadde.