Luke 5:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era tewali muntu addira vviini nsu n'agifuka mu nsawo nkadde; bw'akola atyo, evviini ensu eyabya ensawo, n'eyiika, n'ensawo ne zifa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era tewali ateeka wayini omusu mu nsawo enkadde ez’amaliba ga wayini, kubanga wayini omusu ajja kuziyuza ayiike.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde; kubanga omwenge omusu gwabya ensawo ez'amaliba, ne guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era omwenge ogw'emizabbibu omusu tegufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba enkadde. Singa kino kikolebwa, guzaabya, omwenge ogwo n'ensawo n'obifiirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde; kubanga omwenge omusu gwabya ensawo ez'amaliba, ne guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana.