Luke 5:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era tewali anywa ku vviini nkadde, ate n'addayo n'ayagala ensu; kubanga agamba nti: ‘Enkadde nnungi.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era tewali anywa ku wayini omukadde ate ayagala okunywa ku wayini omusu. Kubanga agamba nti, ‘Omukadde ye asinga omusu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tewali muntu anywedde ku mwenge omukulu ayagala omuto; kubanga agamba nti, ‘ Omukulu gwe mulungi.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ekirala, omuntu amanyidde okunywa omwenge ogw'emizabbibu omukulu, tayagala musu, kubanga agamba nti: ‘Omukulu gwe gusinga okuwooma.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tewali muntu anywedde ku mwenge omukulu ayagala omuto; kubanga agamba nti Omukulu gwe mulungi.